Matthew 17:1-8

Okufuusibwa kwa Yesu

1Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu. 2N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana. 3Laba Musa ne Eriya ne balabika, ne boogera ne Yesu.

4Peetero n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bw’oba ng’osiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa n’endala ya Eriya.”

5 aBwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”

6Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo. 7 bYesu n’ajja gye bali n’abakwatako n’abagamba nti, “Mugolokoke temutya.” 8Bwe babbulula amaaso, baalabawo Yesu yekka!

Copyright information for LugEEEE